lydia jazmine - gwokya nga omuliro كلمات الأغنية
yeah
ooh ooh yeah
oh yeah yeah yeah yeah
omukwano gwo gwokya ng’omuliro
gwokya ng’omuliro
olimu sukaali ng’ebikajjo by’e kawolo
gwokya ng’omuliro
omukwano gwo gwokya nga omuliro oh
gwokya ng’omuliro
olimu sukaali ng’ebikajjo by’e kawolo
gwokya ng’omuliro
sweet olimu sukaali ojje naawe
weekombeko lumu omanye
olina akamwenyu bwoba osese
oyakaayaka ng’emmunyenye
buli lwendaba akutunuulira
mba muyi sitereera
obuwoomi bwo bw’oyina
bummaze amaanyi gonna
ebigezo bingi yeah
tekinkola bulungi, no (no)
oyambala smart n’onyuma
n’otwala amaaso gonna
onsika seppulingi yeah
omukwano gwo gwokya ng’omuliro
gwokya ng’omuliro
olimu sukaali ng’ebikajjo by’e kawolo
gwokya ng’omuliro; oh, oh
omukwano gwo gwokya nga omuliro oh
gwokya ng’omuliro
olimu sukaali ng’ebikajjo by’e kawolo
gwokya ng’omuliro
olina obwogi bwa kyambe
nze ndi mazzi oli nkonge
bw’onookyafuwala n’oddugala
naakukuuta n’ekyangwe
nze ndi mumpi gwe oli muwanvu
kino ekiwato kya nje (oooh)
nja kufumbira duuma
nja biwoomesa (nja biwoomesa)
ojja kundeetera gonja
nja kusiikira (nja kusiikira)
nja kukuumira ekyama
nze nja kulwanira
n’akawunga ne doodo dear nja biwoomesa
na yenna gw’oyinayo
mugambe akite nayingirawo
omukwano gwo gwokya ng’omuliro
gwokya ng’omuliro
olimu sukaali ng’ebikajjo by’e kawolo
gwokya ng’omuliro; oh, oh
omukwano gwo gwokya nga omuliro oh
gwokya ng’omuliro
olimu sukaali ng’ebikajjo by’e kawolo
gwokya ng’omuliro
bw’oliba ng’okaaba
naakuwa sweet w’akati onuune
nkufumbire, nkuzaalire abaana batufaanane
yoya osabe (yoya osabe)
byonna ofune (byonna ofune)
omukwano gumpe ngukuumire eno
nguteekeko ejjinja
ngukuume nga zaabu ngutereke
okomewo nkubikkulire
nfune otulo, mpone ekiro
gw’olimu sukaali hamuka masaali
owoomesa ka chai nga tekuli majaani
omukwano gwo gwokya ng’omuliro
gwokya ng’omuliro
olimu sukaali ng’ebikajjo by’e kawolo
gwokya ng’omuliro; oh, oh
omukwano gwo gwokya nga omuliro oh
gwokya ng’omuliro
olimu sukaali ng’ebikajjo by’e kawolo
gwokya ng’omuliro
olimu sukaali
gwokya ng’omuliro
oh yeah eh
gwokya ng’omuliro
gwokya ng’omulirooo oh
gwokya ng’omuliro
كلمات أغنية عشوائية
- zibba - accendo la radio كلمات الأغنية
- jb - föll för din charm كلمات الأغنية
- wizard - cultural cleansing كلمات الأغنية
- lycania - standing on the edge كلمات الأغنية
- the demonics - regan كلمات الأغنية
- the lion & the sloth - i don't "phil" good. كلمات الأغنية
- caroline innerbichler - travelin' song كلمات الأغنية
- ozthewiz - gdv. كلمات الأغنية
- big mic tgk & dj puza tgk - michael كلمات الأغنية
- blxty - twisted كلمات الأغنية